Luganda1Engeri Ey’okutandikamu Akabiina Akayiga Baibuli.

Tukkiriza nga Katonda ayagala okukukozesa nga bw’oli, w’obeera, by’okola oba n’engeri gy’otabaganamu n’abalala okuleetawo enjawulo kulw’obulamu obutagwaawo.
Okutandika, wano waliwo emitendera esatu:-

1. OKUSABA
.......kitandika na kusaba era n’enkolagana.

ESSAALA
●Sabira mukwano gwo anakuyamba okutandika akabiina ak’’okuyiga Baibuli.
●Musabirenga wamu bulijjo. Musabe Katonda enteekateeka ze n’okulungamya kwe.
● Musabe nga bwe mutambula okwetooloola mu kitundu kyammwe. Musabe omukisa gwa Katonda
n’obukuumi bwe.
● Musabire abantu nga mwatula amannya gaabwe. Musabe Mukama omwaganya ogw’okusisinkana,
okufaayo eri abalala n’okuweerezagananga.
● Mubasabire bafune okuyaayaana okusoma bayibuli.

ENKOLAGANA
● Sisinkana abo ababeera, abakolera mu kitundu gy’obeera oba b’otabagan nabo mu kitundu kyo. Beera wa mukwano era nga ozzaamu amaanyi.
● Tandikawo emboozi, buuza ebibuuzo ebirungi, era beera muwuliriza mulungi.
● Mumaleeko obudde wamu ku ka Caayi oba eky’emisana.
● Noonya emyagaanya gy’okwagala, okugaba n’okuwereza.

2. TEEKAWO ENKOLAGANA
......zuula abo abakyetaaga.

TEEKATEEKA OLUKUNGAANA
● Londa ennaku z’omwezi, obudde n’ekifo.
● Kola olukalala lw’abantu b’oyagala bajje.
● Saba era obaanirize.
● Tekateeka okubawa ebiweweeza bw’oba ng’okyagadde.
● Wandiika olukalala lw’ebibuuzo eby’okunyumyaako oba tekateekayo ekintu kye munaakola nga
kibagatta nga mukungaanye.

EKIRUNGAMYA OLUKUNGAANA
● Gabula ka caayi oba kakawa, n’obw’okulya obutonotono bwekiba nga kyagalwa.
●Baanirize, weyanjule era naawe omanye buli omu kubo (weyambise ebibuuzo oba eky’okukola)
era obawe akadde okunyumirwa.
●Nga enkomerero y’akaseera ako enateera okutuuka, yogera ekintu nga bw’oti: Tubadde
n’akaseera akasuffu awamu. Njayaana okuteekawo embeera ennungi era n’ekitundu ekifaayo Abantu nga ffe wetuyinza okuyigira Baibuli awamu nga tuzuula kiki ky’eyogera era n’engeri jekikwata ku buli ssekinoomu ku ffe. Bambi muntegeeze oba nga mwandikyagadde.

3. KULEMBERAMU
......kaakati tandika.

● Wanula ku Mutimbagano Eby’okuyiga bino era obifulumye mu kyapa buli muntu omuwe.
● Londako kimu ku by’okuyiga ebina Eby’eby’awandiikibwa Ebikuweereddwa ku Mutimbagano
Eby’okuyiga..
● Abayizi bajja kwetaagayo akatabo akatono ak’okuwandiikamu okusobola okukuuma ebibeera
biddidwamu mu buli bibuuzo by’olunaku.

Tutuukirire tukuyambe okukuvvuunulira wano ku This email address is being protected from spambots. You need JavaScript enabled to view it..

Emisomo gya Bayibuli mu Luganda

  • EKITANGALA (Luganda - Light)

    3.8/5 rating (4 votes)
    EKITANGALA (Luganda - Light)

    EKITANGALA: Obulamu bw’enfuddu eyomumazzi buli mu nnyanja. Singa ebeera evudde mu kifo kyayo eky’obutonde mwebeera olw’ekitangala ekitali kya bulijjo, olwo okufa kuba kugituseeko. Yesu yagamba nti, “Nze kitangaala eky’ensi... ekitangaala ekileeta obulamu” Yokaana 8:12. Ssoma mu ngeri ey’ebuziba amasomo ana agetoolorera ku bulamu, enkolagana, ebyamagero, n’obubaka bwa Yesu okuva mu njiri zona ennya.
  • OMUTIMA (Luganda - Heart)

    3.5/5 rating (2 votes)
    OMUTIMA (Luganda - Heart)

    OMUTIMA: Ekigambo kya Katonda kikyusa omutima! Amasomo abiri agasooka gassa essira ku mutima gwa Katonda eri ggwe era n’engeri omutima gwo gyegusobola okufuuka amaka ga Kristo. Amasomo abiri agasembayo gakulungamya okugenda buziba mu byawandiikibwa ebikuzaamu amanyi n’okugumya omutima gwo. Amasomo gano aga Baiburi 5 gava mu byawandiikibwa ebyenjawulo okuva mu ndagaano enkadde n’empya.

What is NBS2GO?

NBS2GO = Neighbor Bible Studies 2GO. This website is the simple packaging of ideas, resources, and inspiration to equip believers to launch and multiply Bible study groups.


What's the big deal about a neighbor Bible study group?

A neighbor Bible study group brings together a wide range of seekers and Christ-followers to study, discuss, and encourage one another toward life application of God’s Word. This blending of spiritual maturity levels creates a dynamic, life-transforming community. Friendships are formed, and group members are equipped to minister to others where they do life. 

NLT Scripture references on nbs2go.com and in publications, unless otherwise noted.

Contact Us

Please let us know your name.
Please let us know your email address.
Please choose one.
Please let us know your message.
Invalid Input

By clicking the "Send" button below, you agree to receive email updates from NBS2GO and agree to Cru’s privacy policy.