Luganda

NBS2GO in Luganda



Engeri Ey’okutandikamu Akabiina Akayiga Baibuli.

Tukkiriza nga Katonda ayagala okukukozesa nga bw’oli, w’obeera, by’okola oba n’engeri gy’otabaganamu n’abalala okuleetawo enjawulo kulw’obulamu obutagwaawo.
Okutandika, wano waliwo emitendera esatu:-

1. OKUSABA

… kitandika na kusaba era n’enkolagana.

ESSAALA
●Sabira mukwano gwo anakuyamba okutandika akabiina ak’’okuyiga Baibuli.
●Musabirenga wamu bulijjo. Musabe Katonda enteekateeka ze n’okulungamya kwe.
● Musabe nga bwe mutambula okwetooloola mu kitundu kyammwe. Musabe omukisa gwa Katonda n’obukuumi bwe.
● Musabire abantu nga mwatula amannya gaabwe. Musabe Mukama omwaganya ogw’okusisinkana, okufaayo eri abalala n’okuweerezagananga.
● Mubasabire bafune okuyaayaana okusoma bayibuli.

ENKOLAGANA
● Sisinkana abo ababeera, abakolera mu kitundu gy’obeera oba b’otabagan nabo mu kitundu kyo. Beera wa mukwano era nga ozzaamu amaanyi.
● Tandikawo emboozi, buuza ebibuuzo ebirungi, era beera muwuliriza mulungi.
● Mumaleeko obudde wamu ku ka Caayi oba eky’emisana.
● Noonya emyagaanya gy’okwagala, okugaba n’okuwereza.

2. TEEKAWO ENKOLAGANA

… zuula abo abakyetaaga.

TEEKATEEKA OLUKUNGAANA
● Londa ennaku z’omwezi, obudde n’ekifo.
● Kola olukalala lw’abantu b’oyagala bajje.
● Saba era obaanirize.
● Tekateeka okubawa ebiweweeza bw’oba ng’okyagadde.
● Wandiika olukalala lw’ebibuuzo eby’okunyumyaako oba tekateekayo ekintu kye munaakola nga kibagatta nga mukungaanye.

EKIRUNGAMYA OLUKUNGAANA
● Gabula ka caayi oba kakawa, n’obw’okulya obutonotono bwekiba nga kyagalwa.
●Baanirize, weyanjule era naawe omanye buli omu kubo (weyambise ebibuuzo oba eky’okukola)
era obawe akadde okunyumirwa.
●Nga enkomerero y’akaseera ako enateera okutuuka, yogera ekintu nga bw’oti: Tubadde
n’akaseera akasuffu awamu. Njayaana okuteekawo embeera ennungi era n’ekitundu ekifaayo Abantu nga ffe wetuyinza okuyigira Baibuli awamu nga tuzuula kiki ky’eyogera era n’engeri jekikwata ku buli ssekinoomu ku ffe. Bambi muntegeeze oba nga mwandikyagadde.

3. KULEMBERAMU

… kaakati tandika.

Wanula ku Mutimbagano Eby’okuyiga bino era obifulumye mu kyapa buli muntu omuwe.
● Londako kimu ku by’okuyiga ebina Eby’eby’awandiikibwa Ebikuweereddwa ku Mutimbagano Eby’okuyiga.
● Abayizi bajja kwetaagayo akatabo akatono ak’okuwandiikamu okusobola okukuuma ebibeera
biddidwamu mu buli bibuuzo by’olunaku.

Tutuukirire tukuyambe okukuvvuunulira wano ku contact@nbs2go.com.

Emisomo gya Bayibuli mu Luganda

EKITANGALA (Luganda – Light)

EKITANGALA: Obulamu bw’enfuddu eyomumazzi buli mu nnyanja. Singa ebeera evudde mu kifo kyayo eky’obutonde mwebeera olw’ekitangala ekitali kya bulijjo, olwo okufa kuba kugituseeko. Yesu yagamba nti, “Nze kitangaala eky’ensi… ekitangaala ekileeta obulamu” Yokaana 8:12. Ssoma mu ngeri ey’ebuziba amasomo ana agetoolorera ku bulamu, enkolagana, ebyamagero, n’obubaka bwa Yesu okuva mu njiri zona ennya.

Study Guide: View | Download
Leader Guide: View | Download
Duration: 8 week

OMUTIMA (Luganda – Heart)

OMUTIMA: Ekigambo kya Katonda kikyusa omutima! Amasomo abiri agasooka gassa essira ku mutima gwa Katonda eri ggwe era n’engeri omutima gwo gyegusobola okufuuka amaka ga Kristo. Amasomo abiri agasembayo gakulungamya okugenda buziba mu byawandiikibwa ebikuzaamu amanyi n’okugumya omutima gwo. Amasomo gano aga Baiburi 5 gava mu byawandiikibwa ebyenjawulo okuva mu ndagaano enkadde n’empya.

Study Guide: View | Download
Leader Guide: View | Download
Duration: 8 week